MUNSONYIWE! Abadde akozesa ennyo ente akwattiddwa, aguddwako okutyobola eddembe ly’ebisolo

©GALAXY

Poliisi ekutte omusajja myaka 35 lwa kozesa nnyo nte. Diwume Wabalezi omutuuze ku kyalo Kagulu mu goombolola y’e Kagulu yakwattiddwa ku bigambibwa nti abadde asukiridde okukoze ennyo ente ze emirimu egyenjawulo omuli okulima. Okusinzira ku musawo w’ebisolo Simon Peter Ochoka, Wabalezi abadde akozesa ente okuva ku makya paka budde kuziba era y’emu ku nsonga lwaki […]


Poliisi ekutte omusajja myaka 35 lwa kozesa nnyo nte.

Diwume Wabalezi omutuuze ku kyalo Kagulu mu goombolola y’e Kagulu yakwattiddwa ku bigambibwa nti abadde asukiridde okukoze ennyo ente ze emirimu egyenjawulo omuli okulima.

Okusinzira ku musawo w’ebisolo Simon Peter Ochoka, Wabalezi abadde akozesa ente okuva ku makya paka budde kuziba era y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okuyita Poliisi okumukwata.

Okusinzira ku Poliisi, Wabalezi aguddwako okutulugunya eddembe ly’ebisolo.