Eyali Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura atwaliddwa mu kkooti enkulu mu Kampala ku by’okulemesa omusirikale okuwuumula mu 2016. Mu kkooti atwaliddwayo, omusirikale Detective Assistant Inspector of Police (D/AIP) Nelson Mungasa ng’akulembeddwamu bannamateeka be aba Kiwanuka, Kanyago and company advocates, era mu kiwandiiko kye agambye nti mu 2016, yali amaliriza, okwetekateeka okuvuganya ku […]
Eyali Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura atwaliddwa mu kkooti enkulu mu Kampala ku by’okulemesa omusirikale okuwuumula mu 2016.
Mu kkooti atwaliddwayo, omusirikale Detective Assistant Inspector of Police (D/AIP) Nelson Mungasa ng’akulembeddwamu bannamateeka be aba Kiwanuka, Kanyago and company advocates, era mu kiwandiiko kye agambye nti mu 2016, yali amaliriza, okwetekateeka okuvuganya ku ky’omubaka wa Palamenti e Kapchorwa, kyoka Gen Kale Kayihura, yamulemesa, bwe yagaana okuteeka omukono ku kiwandiiko kye, ekimukiriza okuwuumula emirimu gya Poliisi.

Mungeri y’emu agambye nti okusaba kwe 2015, yakuyisa mu DPC we Jinja Road, kyoka bakulemesa, ekyatataaganya entekateeka ze omuli n’ebirowoozo bye okutataaganyizibwa kuba ekyakolebwa kyali kimenya amateeka, n’okuvoola ekitiibwa ky’offisi.
Mu kiseera kino Mungasa, yakulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Bugolobi.
Wabula amyuka omuwandiisi wa kkooti eyo, Sara Langa yalindiriddwa, okulangirira olunnaku, Kayihura okutandiika okwewozaako ku misango egimuguddwako.
Kinnajjukirwa, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakola enkyukakyuka mu kitongole kya Poliisi, mwe yagobera Gen Kale Kayihura namusikiza Okoth Ochola okuduumira Poliisi mu ggwanga.
Bigiddwaku New Vision
