Poliisi y’e Kabale ekoze ekikwekweeto mu kiro ekikeseza olwaleero n’eyoola abantu 57 abagambibwa okutigomya abatuuze mu goombolola ezenjawulo n’okusingira ddala goombolola y’e Kabale. Bona abakwattiddwa bagiddwa ku kyalo Kigongi nga kuliko basajja 39 n’abakyala 19. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwattiddwa, basangiddwa nga batayaaya, nga tebalina kiwandiiko kyona kiyinza […]
Poliisi y’e Kabale ekoze ekikwekweeto mu kiro ekikeseza olwaleero n’eyoola abantu 57 abagambibwa okutigomya abatuuze mu goombolola ezenjawulo n’okusingira ddala goombolola y’e Kabale.
Bona abakwattiddwa bagiddwa ku kyalo Kigongi nga kuliko basajja 39 n’abakyala 19.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwattiddwa, basangiddwa nga batayaaya, nga tebalina kiwandiiko kyona kiyinza ku bogerako ate ng’abbo balemeddwa okunyonyola lwaki batambula ekiro.

Mungeri y’emu agambye nti ekikwekweto okolebwa, kivudde ku batuuze okwemulugunya ku bantu abakyamu abeyongedde mu kitundu kyabwe n’okusingira ddala ababbi.
