Poliisi y’e Mubende etandiise okunoonyereza ku babbi abegumbulidde, okuzindukiriza abasuubuzi mu kubbo ne batwala ebintu byabwe. Okusinzira ku Poliisi, mu kiro ky’olunnaku olwokubiri sabiti eno, ababbi bateeka emisanvu ku kyalo Wabikere mu goombolola y’e Myanzi ku luguudo oluva e Mubende-Mityana ne banyaga abasuubuzi abaali batambuza kasooli ku Fuso namba UAU 384Y ng’abalirwamu obukadde 7 obwa […]
Poliisi y’e Mubende etandiise okunoonyereza ku babbi abegumbulidde, okuzindukiriza abasuubuzi mu kubbo ne batwala ebintu byabwe.
Okusinzira ku Poliisi, mu kiro ky’olunnaku olwokubiri sabiti eno, ababbi bateeka emisanvu ku kyalo Wabikere mu goombolola y’e Myanzi ku luguudo oluva e Mubende-Mityana ne banyaga abasuubuzi abaali batambuza kasooli ku Fuso namba UAU 384Y ng’abalirwamu obukadde 7 obwa Uganda.
Ababbi baali bakutte emmundu ekika kya Pistol 2, era beyambisa ebintu ebyenjawulo, okuteeka emisanvu mu kkubo, okusobola okubba abasuubuzi.
Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala, Nobert Ochom agambye nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonyereza ku bantu abbo, abenyigidde mu kikolwa ekyo bonna bakwattibwe.
