MWEDDEKO! Ssaabasumba Lwanga alumbye aba Gav’t ku kitta bantu n’abakazi okuggyamu embuto

©GALAXY

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akowodde Gavumenti okusitukiramu okusosowaza ebinyigiriza abantu okusinga bannansi okuwangalira mu maziga. Ssaabasumba Lwanga bw’abadde ayagaliza bannayuganda mazuukira ga Mukama waffe Yezu Kuristo ku Ssande eno nga 1, April, 2018, yekokodde ekitta bantu ekiri mu ggwanga lino, abakyala okugyamu embuto, obutabanguko mu maka, enjawukana ku ttaka, obwavu […]


SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akowodde Gavumenti okusitukiramu okusosowaza ebinyigiriza abantu okusinga bannansi okuwangalira mu maziga.

Ssaabasumba Lwanga bw’abadde ayagaliza bannayuganda mazuukira ga Mukama waffe Yezu Kuristo ku Ssande eno nga 1, April, 2018, yekokodde ekitta bantu ekiri mu ggwanga lino, abakyala okugyamu embuto, obutabanguko mu maka, enjawukana ku ttaka, obwavu obweyongedde okusenkenya bannansi, obuseegu nga byona, Gavumenti eteekeddwa okubirwanyisa.

Ssaabasumba agamba nti Gavumenti eteekeddwa okukola omulimu gwaayo, okulongoosa embeera za bannansi.

Mungeri y’emu akoowodde abakiriza, okusigala nga beeyisa bulungi nga bwegubadde mu biseera bye kisiibo.