AUDIO! Poliisi eremeddeko okuggalira omuyimbi, omutegesi w’ebivvulu, ssente zibizadde

©GALAXY

Poliisi erabudde okusiba omuyimbi yenna n’abatekateeka ebivvulu abagenda okufuna ensimbi mu lukujjukujju okuva mu bantu nga befudde abatekateeka ebivvulu. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi Emilian Kayima, bangi ku bategesi b’ebivvulu balanga abayimbi mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo nga tebajja kugendayo, ekitabangula abadigize n’ekivaamu okulwanagana n’okuyuwa omusaayi. Mungeri y’emu agambye nti, bategesi b’ebivvulu bateekeddwa okuteeka mu […]


Poliisi erabudde okusiba omuyimbi yenna n’abatekateeka ebivvulu abagenda okufuna ensimbi mu lukujjukujju okuva mu bantu nga befudde abatekateeka ebivvulu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi Emilian Kayima, bangi ku bategesi b’ebivvulu balanga abayimbi mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo nga tebajja kugendayo, ekitabangula abadigize n’ekivaamu okulwanagana n’okuyuwa omusaayi.

Mungeri y’emu agambye nti, bategesi b’ebivvulu bateekeddwa okuteeka mu nkola ebyatuukiddwako wakati bwabwe ne Poliisi, mu nsisikano eyabaddewo ku lunnaku Lwokuna okwegata n’ebitongole ebikuuma ddembe okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula emirembe n’okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka ng’abantu bali mu gandaalo lya pasika.

Kayima agamba nti omuyimbi yenna oba omutegesi w’ebivvulu anaamenya amateeka bagenda kumukwata bamugalire kuba eky’okulanga abayimbi abempewo oba ky’obutayimba, kikolwa kya kufuna ssente mu lukujjukujju.