AUDIO! Ekitta abantu mu ggwanga n’ebbula ly’emirimu mu bavubuka, Ssaabalabirizi Ntagali atabukidde Gavumenti

©GALAXY

Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Rev. Stanley Ntagali yekokodde ekitta bantu ekiri mu ggwanga lino omuli abantu okuwambibwa n’okusingira ddala abakyala ne battibwa ate abakikola begumbulidde okusaba ssente. Ssaabalabirizi Ntagali bwe yabadde akulembedde ekitambiro kya Mmisa mu Kanisa ya All Saints Cathedral Nakasero, kkampala, agambye nti ebikolebwa kiraga nti emitima gy’abantu kyongedde okuddugala era abakiriza mu […]


Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Rev. Stanley Ntagali yekokodde ekitta bantu ekiri mu ggwanga lino omuli abantu okuwambibwa n’okusingira ddala abakyala ne battibwa ate abakikola begumbulidde okusaba ssente.

Ssaabalabirizi Ntagali bwe yabadde akulembedde ekitambiro kya Mmisa mu Kanisa ya All Saints Cathedral Nakasero, kkampala, agambye nti ebikolebwa kiraga nti emitima gy’abantu kyongedde okuddugala era abakiriza mu ggwanga lyona balina okusabira eggwanga lyabwe Uganda.

Mungeri y’emu abikudde ekyama nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka y’emu ku nsonga lwaki bangi bakukusibwa okutwalibwa emitala w’amayanja okukyusa embeera zabwe kyoka ne bawunzika nga bakozesebwa ng’abaddu.