Ababaka ba Palamenti batabukidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulemberamu okutabula buli muntu, asobole okuwangalira mu buyinza. Ababaka n’okusingira ddala ku ludda oluvuganya bavumiridde ekya Gavumenti okusindiika bambega baayo mu bannadiini era y’emu ku nsonga lwaki Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr.Cyprian Kizito Lwanga yavuddeyo ku paasika nakiwakanya. “Abantu abakuwa amawulire amakyamu nga befudde […]
Ababaka ba Palamenti batabukidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulemberamu okutabula buli muntu, asobole okuwangalira mu buyinza.

Ababaka n’okusingira ddala ku ludda oluvuganya bavumiridde ekya Gavumenti okusindiika bambega baayo mu bannadiini era y’emu ku nsonga lwaki Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr.Cyprian Kizito Lwanga yavuddeyo ku paasika nakiwakanya.
“Abantu abakuwa amawulire amakyamu nga befudde mambega eri bannadiini be balabe bo nnamba emu era bw’otoobeegendereze bagenda kukukozesa ensobi bakusuule’’ Ssaabasumba Lwanga bwe yategeezezza.

Yakakasizza pulezidenti Museveni nga bwe batamulinaako buzibu, kyokka n’amujjukiza okukola ekituufu nga bwe yalayira okuweereza Bannayuganda nga yeesigama ku mmoto y’eggwanga egamba nti ‘’Ku bwa Katonda n’ensi yange’’.
Mungeri y’emu yasabye okwekenneenya ku bakuumaddembe mu bibiina ebikessi eby’enjawulo okuli ISO ne CMI by’agambye nti bijjudde abalimba abaviiriddeko abantu abatalina musango okuttibwa.
Wabula omubaka we Mukono mu Palamenti Betty Nambooze agambye nti bannadiini balina eddembe lyabwe okwongera ku nsonga eziri mu ggwanga kyoka Pulezidenti Museveni okubateekamu bambega, kikolwa kya kusasaanya bukyayi.
Ate omubaka w’e Kalungu South, Gozanga Ssewungu agambye nti Gavumenti ya Mukulu Museveni eremeddwa okumanya weteekeddwa okukoma ku bitongole ebyenjawulo omuli amaggye, Palamenti, Poliisi, bannadiini n’ebirala.
Ku nsonga eyo, omubaka Moses Kasibante owe Lubaga North agambye nti Gavumenti okulumba bannadiini, Palamenti erina okutekawo akakiiko akenjawulo okunoonyereza.
Ssempala Kigozi ow’e Makindye agambye nti Pulezidenti yegumbulidde okutaataganya enzikiriza nga yasokera mu basiramu ate ayingiridde abakulisitaayo era balina okunoonyereza mu bwangu.

Wabula Ssaabaminisita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti ensonga ya bannadiini, Pulezidenti Museveni aziyingiddemu okuzigonjola.
