AUDIO! Abavubuka basobezza ku muwala kirindi n’azirika, omuwala akabidde ku Poliisi ekyenda kinuma, bamwanukudde watulemeseza okumala

©GALAXY

Poliisi e Kireka mu division y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abavubuka 4, abasobeza ekirindi ku mwana omuwala myaka 14. Abakwattiddwa kuliko John Sempungu, Fred Danty, Rafiki Abdul ne Travor Muwanga ng’ekikolwa ekyo, bakikoledde ku kyalo Nkere mu Zone y’e Kamuli. Omwana gwe basobezaako, nnyina ye Cissy Naiga ate kitaawe ye Tadeo Magezi nga […]


Poliisi e Kireka mu division y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abavubuka 4, abasobeza ekirindi ku mwana omuwala myaka 14.
Abakwattiddwa kuliko John Sempungu, Fred Danty, Rafiki Abdul ne Travor Muwanga ng’ekikolwa ekyo, bakikoledde ku kyalo Nkere mu Zone y’e Kamuli.
Omwana gwe basobezaako, nnyina ye Cissy Naiga ate kitaawe ye Tadeo Magezi nga batuuze ku kyalo Ntawo mu disitulikiti y’e Mukono kyoka bayawukana dda.
Abakwattiddwa bakiriza eky’okusobya ku mwana era balambuludde engeri gye bakikozeemu kuba omuwala bamulonze ekkubo okuva mu bbaala ya Victoria bar e Kireka.

Ate omwana gwe basobezaako anyonyodde embeera yonna “Mukwano gwange yankubidde n’agamba nti carol jjangu, kati olwatuuse ne musanga ku Shell ne tugenda ne tukyusa engoye, kati olwamazze ne tusanga abalenzi abbo, abalenzi nabadde manyiiko babiri (2) omu Ronald abalala nga ssibamanyi mukwano gwange y’abamanyi, n’agamba nti ngende nabbo ye asigale alina gyalaga, nageenda nange nandekera bano, bantutte paka mu nnyumba ne bankozesa ku ssaawa 11 ez’okumakya, babadde 5, sirina mannyi ne mu lubuto mpulira obulumi. Waliwo omukyala alina omwana eyasobodde okundaba era yampadde amagezi okugenda ku Poliisi okuloopa”.

Abakwattiddwa baguddwako, omusango gw’okujjula ebitanajja era akulira Poliisi y’e Kireka Muyonjo Nicolas, agambye nti omwana bagenda kumutwala mu ddwaliro bamwekebejje oba yasigiddwa sirimu ate abavubuka bagenda ku bekebejje obwongo.