Abantu babiri (2) battiddwa nga bakubiddwa laddu ku kyalo Bujengwe mu goombolola y’e Kayonza mu Disitulikiti y’e Kanungu. Abafudde kuliko Katushabe Peninah ne muwala we Turyakira Rachel myaka 15 abadde omuyizi ku Kihihi Vocational Center. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, enkuba eyatonyeredde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yagwikiriza Katushabe ng’ali mu […]
Abantu babiri (2) battiddwa nga bakubiddwa laddu ku kyalo Bujengwe mu goombolola y’e Kayonza mu Disitulikiti y’e Kanungu.
Abafudde kuliko Katushabe Peninah ne muwala we Turyakira Rachel myaka 15 abadde omuyizi ku Kihihi Vocational Center.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, enkuba eyatonyeredde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yagwikiriza Katushabe ng’ali mu nnyumba laddu ne mukubirayo ate omwana Rachel yamusanze bweru ng’akuuta sapatu.
Maate agambye nti basobodde okwekebejja emirambo era bakiriza ab’enganda n’ab’emikwano okutekateeka okuziika.
