Abayimbi okuli Tip Swizzy, Feffe Bussi, Zil Zil bayongedde okulaga nti wadde bakyali bavubuka bato naye bategeera bulungi okuyimba era balina okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino. Abayimbi bano mu kiro ekikeseza olwa leero, babadde mu kirabu Amnesia mu Kampala era buli omu aweereddwa obudde obumala okusanyusa abadigize. Byana biwala obwedda biraga ffiga n’engeri […]
Abayimbi okuli Tip Swizzy, Feffe Bussi, Zil Zil bayongedde okulaga nti wadde bakyali bavubuka bato naye bategeera bulungi okuyimba era balina okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino.

Abayimbi bano mu kiro ekikeseza olwa leero, babadde mu kirabu Amnesia mu Kampala era buli omu aweereddwa obudde obumala okusanyusa abadigize.

Byana biwala obwedda biraga ffiga n’engeri Katonda gye yabiwunda nga by’olesa n’ebimu ku bitundu byabyo eby’omubiri.

Bbo abayimbi basobodde okuyimba ennyimba zabwe zonna okulaga abantu nti balina ekitone.
Mu Kampala yonna, Kirabu Amnesia eyongedde okulaga nti yanjawulo nnyo kuba erina entekateeka ezenjawulo okukuuma bannakampala nga balina ku ssanyu omuli abayimbi buli lunnaku, bannakatemba, omwenge ku ku bbeeyi layisi n’ebintu ebirala.
