KIWEDDE! Poliisi mu Kampala ekutte bawomerwa omusaayi gw’abantu 3, basaangiddwa n’ebikozesebwa ebikambwe

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte abavubuka 3 nga babadde begumbulidde okutigomya abatuuze ku byalo ebyenjawulo okuli Gangu, Kibiri, Busabala ne Katwe mu goombolola y’e Makindye mu Kampala nga beyambisa ebijjambiya okutematema abantu. Abakwattiddwa kuliko Farouk Keya nga mu kitundu abadde amanyikiddwa nga Benja Mosh, Steven Muwanga nga yeepaatikako erya Doobozi ne Benja Musisi amanyikiddwa nga Mandwa. […]


Poliisi mu Kampala ekutte abavubuka 3 nga babadde begumbulidde okutigomya abatuuze ku byalo ebyenjawulo okuli Gangu, Kibiri, Busabala ne Katwe mu goombolola y’e Makindye mu Kampala nga beyambisa ebijjambiya okutematema abantu.

Omusirikale n'omu ku babbi
Omusirikale n’omu ku babbi

Abakwattiddwa kuliko Farouk Keya nga mu kitundu abadde amanyikiddwa nga Benja Mosh, Steven Muwanga nga yeepaatikako erya Doobozi ne Benja Musisi amanyikiddwa nga Mandwa.

Densite n'ebintu ebirala
Densite n’ebintu ebirala

Abavubuka okwattibwa, kidiridde okutematema abantu abenjawulo nga batwala ebintu byabwe era mu kikwekweeto ekyakoleddwa Poliisi ng’eyambibwako abatuuze, basaangiddwa n’ebijjambiya, engoye ezimu nga ziriko omusaayi, emifaliso mingi ddala, layini z’amassimu ne Densite y’omukyala Tumusiime Aidah omu kwabo abakubwa ne batwala ebintu byabwe.

Abakwatte baguddwako emisango egyenjawulo omuli ogw’obubbi.