VIDIYO! Ebikyupuli mu Kampala, Poliisi ezudde bya bukadde, abasuubuzi basigadde mu maziga agajulujulu

©GALAXY

Poliisi eraze bannamawulire ebintu ebyakwattibwa nga bikyupuli mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Ebiragiddwa kuliko emifaaliso, woyiro mu mmotoka, eddagala ly’amannyo, ebyuma by’ebiduuka omuli pikipiki, emotooka n’ebintu ebirala. Akulira Poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Fred Yiga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kololo enkya ya leero, agambye nti mu kikwekweeto ekyaliwo sabiti ewedde, Poliisi […]


Poliisi eraze bannamawulire ebintu ebyakwattibwa nga bikyupuli mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Ebiragiddwa kuliko emifaaliso, woyiro mu mmotoka, eddagala ly’amannyo, ebyuma by’ebiduuka omuli pikipiki, emotooka n’ebintu ebirala.

Akulira Poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Fred Yiga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kololo enkya ya leero, agambye nti mu kikwekweeto ekyaliwo sabiti ewedde, Poliisi eyongedde okukizuula nti mu Uganda abasuubuzi bangi nnyo abatunda ebintu ebikyupuli era bonna bagenda kuyigibwa.

Fred Yiga agamba kino kikolebwa, okulwanyisa ebintu byona ebitali ku mutindo mu Uganda n’abbo abayinza okubireeta mu ggwanga.