Bya Kyeyune steven Mirembe Poliisi y’e Rubanda etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku bantu babiri nga bonna ba famire emu. Taata James Turyatunga 53 yattiddwa ne mutabani we Jasper Turyasingura nga bonna bakubiddwa ne battibwa. Kigambibwa omugenzi Taata James yafumbiza muwalawe kyoka mutabani we Jasper yabadde ayagala bagabanire wakati ebintu ebyaleteddwa, ekyavuddeko obutakanya. Ku lunnaku […]
Bya Kyeyune steven Mirembe
Poliisi y’e Rubanda etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku bantu babiri nga bonna ba famire emu.
Taata James Turyatunga 53 yattiddwa ne mutabani we Jasper Turyasingura nga bonna bakubiddwa ne battibwa.
Kigambibwa omugenzi Taata James yafumbiza muwalawe kyoka mutabani we Jasper yabadde ayagala bagabanire wakati ebintu ebyaleteddwa, ekyavuddeko obutakanya.
Ku lunnaku Lwokutaano (6, April, 2018), ku kyalo Kibungu mu goombolola y’e Muko, omutabani Jasper yakutte enkumbi nagikuba taata ku mutwe nafirawo.
Embeera eyo, yawaliriza abatuuze okuva mu mbeera ne bakubakuba omutabani Jasper naye ne bamutta.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, basobodde okwekebejja ekifo, emirambo era okunoonyereza kutandiise.
