Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White asabye Ssaabawaabi wa Gavumenti (Director of Public Prosecution-DPP) okumugyako omusango gw’okugezaako okutta omuntu ogumuvunanibwa. Enkya ya leero, Bryan White ng’akulembeddwamu bannamateeka be okuli John Bulungu ne Rama Omungu, bategezeeza omulamuzi wa kkooti e Makindye Erias Kakooza nti enteeseganya wakati wa Bryan White n’oludda oluwaabi zigenda mu maaso basobole […]
Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White asabye Ssaabawaabi wa Gavumenti (Director of Public Prosecution-DPP) okumugyako omusango gw’okugezaako okutta omuntu ogumuvunanibwa.
Enkya ya leero, Bryan White ng’akulembeddwamu bannamateeka be okuli John Bulungu ne Rama Omungu, bategezeeza omulamuzi wa kkooti e Makindye Erias Kakooza nti enteeseganya wakati wa Bryan White n’oludda oluwaabi zigenda mu maaso basobole okugonjola ensonga ebweru wa kkooti.
Mungeri y’emu bagambye nti bawandikidde Ssaabawaabi wa Gavumenti, Mike Chibita, Bryan White okugibwako omusango gwo.
Embeera eyo, omuwaabi wa Gavumenti abadde mu kkooti enkya ya leero, Happiness Ainebyoona naye akiriza okulinda okusaba kwa Bryan White okuva eri DPP.
Omulamuzi ayongezaayo omusango gwo, okutuusa nga 24, April, 2018 okuwa obudde enjuyi zombi okuli oludda oluwawabirwa n’oluwaabi okufuna ekyenkomeredde okuva eri Ssaabawaabi wa Gavumenti.
Bryan White myaka 32 avunanibwa n’omusirikale Thomas Okoth myaka 28 ku bigambibwa nti nga 13, Desemba, 2017, bagezaako okutta Victor Bitwire eyali mulirwana wabwe e Munyonyo-Buziga nga yakubwa esasi ku kibegabega n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ataawa.
