Ssemaka myaka 47 yetutte yekka ku Poliisi ya Central Police Station (CPS) mu disitulikiti y’e Lira oluvanyuma lw’okutta mukyala we. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga, David Ongom Mudong, ssemaka yewaanye okutta Sarah Akidi olw’okudda awaka mu matumbi budde ku Ssande nga 8, April, 2018. Ssemaka mutuuze ku kyalo Abor A […]
Ssemaka myaka 47 yetutte yekka ku Poliisi ya Central Police Station (CPS) mu disitulikiti y’e Lira oluvanyuma lw’okutta mukyala we.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga, David Ongom Mudong, ssemaka yewaanye okutta Sarah Akidi olw’okudda awaka mu matumbi budde ku Ssande nga 8, April, 2018.
Ssemaka mutuuze ku kyalo Abor A mu goombolola y’e Adekokwok mu disitulikiti y’e Lira.
Poliisi egamba Ssemaka ategeezeza nti obutakanya wakati we n’omukyala, yakutte omuggo namukuba ku mutwe mukyenyi, naggwa wansi n’asambagala era nafirawo.
Ongom era agambye nti Poliisi esobodde okwekebejja ekifo era ssemaka essaawa yonna bamutwala mu kkooti awerenembe n’omusango gwe.
Abafumbo banno, babadde balina abaana 4.
