ESSANNYU! Omu ku basibe ababiri abatoloka mu kkooti e Masaka attiddwa mu bukambwe, atemeddwa abatuuze

©GALAXY

Omu ku basibe ababiri abatoloka mu kkooti e Masaka mu Febwali wa 2018, abaali bakwattiddwa ku kitta bantu ekyali mu kitundu ekyo, omwaka oguwedde ogwa 2017, attiddwa mu bukambwe mu kiro ekikeseza olwa leero. Muhammad Kiddawalime kati zembuyaga ezikunta kyoka munne Musa Galiwango asimatuse okuttibwa, nadduka era Poliisi, etandikiddewo omuyiggo. Kiddawalime okuttibwa, kidiridde okulumba omu […]


Omu ku basibe ababiri abatoloka mu kkooti e Masaka mu Febwali wa 2018, abaali bakwattiddwa ku kitta bantu ekyali mu kitundu ekyo, omwaka oguwedde ogwa 2017, attiddwa mu bukambwe mu kiro ekikeseza olwa leero.

Muhammad Kiddawalime kati zembuyaga ezikunta kyoka munne Musa Galiwango asimatuse okuttibwa, nadduka era Poliisi, etandikiddewo omuyiggo.

Kiddawalime okuttibwa, kidiridde okulumba omu ku batuuze Musawo Nakyambadde Reste omutuuze ku kyalo Mukoko – Bukulula mu disitulikiti y’e Bukomansimbi okunyaga ebintu ebyenjawulo omuli ensimbi, amasuuka n’ebintu ebirala.

Omusawo Kyambadde amangu ddala ng’ategedde nti alumbiddwa, asobodde okuteegeza ku Poliisi n’abatuuze, abasobodde okudukirira era Kiddawalime ayagadde okwenganga, akulira Poliisi y’e Mukoko, Twinomugisha Steven okumuggyako emmundu, ekitanudde abatuuze ne bamukuba n’okumutematema okutuusa bw’afudde.

Ate munne Galiwango abadde akyali mu nnyumba, asobodde okuduuka era mu kiseera kino, abatuuze ne Poliisi batandiise okusamba ensiko okumuyigga.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lya Masaka Lameck Kigozi agambye nti omugenzi atwaliddwa mu gwanika ly’eddwaliro lye Masaka.

Mungeri y’emu agambye nti enkolagana enungi wakati w’abatuuze ne Poliisi balina esuubi nti Musa Galiwango bagenda kumukwata.