UGANDA ZZAABU! Abavunaanibwa okutta munnansi w’e Finland ku Pearl of Africa Hotel, Kampala bayimbuddwa

©GALAXY

Omulamuzi wa Buganda Road James Mawanda Eremye kyaddaki akiriza abantu 5 abakwatibwa ku by’okutibwa kw’omuzungu okuva mu ggwanga erya Finland ku Pearl of Africa Hotel e Nakasero mu Kampala mu Febwali wa 2018, okweyimirirwa. Omulamuzi alagidde 4 ku 5 abavunanibwa okusasula obukadde 10 obwa Uganda ez’obuliwo ate omukyala Caroline Alinda naye yeyimiriddwa ku bukadde 10 […]


Omulamuzi wa Buganda Road James Mawanda Eremye kyaddaki akiriza abantu 5 abakwatibwa ku by’okutibwa kw’omuzungu okuva mu ggwanga erya Finland ku Pearl of Africa Hotel e Nakasero mu Kampala mu Febwali wa 2018, okweyimirirwa.

Omulamuzi alagidde 4 ku 5 abavunanibwa okusasula obukadde 10 obwa Uganda ez’obuliwo ate omukyala Caroline Alinda naye yeyimiriddwa ku bukadde 10 ezitali za buliwo kuba alina olubuto.

Kkooti era erangiridde 24th/April/2018 okutandika okuwuliriza omusango gwabwe kuba Gavumenti emaliriza okunoonyereza.

Abalala abavunanibwa kuliko omusirikale mu kitongole kya Internal Security Organisation (ISO) Appollo Kyabagye, Fatuma Kabagambe, Nasif Walusimbi avuga sipensulo n’eyali muganzi w’omugenzi Faridah Naggayi.

Kinnajjukirwa 22nd /March 2018 bonna bagulwako emisango egyenjawulo omuli okutta omuntu, obufere n’okukusa ebiragalalagala.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Viola Tusingwire, nga 6th/February 2018 ku Pearl of Africa Hotel e Nakasero mu Kampala, abavunanibwa bekobaana okutta Thomas Juha Petteri Terasvouri nga beyambisa ebiragalalagala era byatwalibwa mu kisenge mwe yali asuziddwa.

Abavunanibwa begaana emisango gyona omuli n’okujingajinga omukono gwa ssenkulu wa ISO Col. Kaka Bagyenda.