Poliisi y’e Katosi ekutte omuvubuka myaka 25 ku by’okusobya ku mwana omuto mwaka gumu (1year). Okusinzira ku kiwandiko kya Poliisi, omusajja akwattiddwa ategerekese nga Wangolo Morris, nga yasendasenda omwana okugenda mu nnyumba ng’amusuubiza okuwa swiiti era bwatyo namusobyako, abatuuze bawulira miranga. Mungeri y’emu Poliisi egambye nti omwana basobodde okumwekebejja mu ddwaliro ng’ebitundu by’ekyama byakoseddwa nga […]
Poliisi y’e Katosi ekutte omuvubuka myaka 25 ku by’okusobya ku mwana omuto mwaka gumu (1year).
Okusinzira ku kiwandiko kya Poliisi, omusajja akwattiddwa ategerekese nga Wangolo Morris, nga yasendasenda omwana okugenda mu nnyumba ng’amusuubiza okuwa swiiti era bwatyo namusobyako, abatuuze bawulira miranga.
Mungeri y’emu Poliisi egambye nti omwana basobodde okumwekebejja mu ddwaliro ng’ebitundu by’ekyama byakoseddwa nga n’amazzi g’omusajja gakyaliyo.
Kaggwensonyi Wangolo mu kiseera kino ali mu kaduukulu ka Poliisi e Mukono era aguddwako emisango egyenjawulo omuli ogw’okusobya ku mwana era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti.
