Bya Zainab Ali Ekitongole ekisolooza emisolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kikutte abantu abakukusa amagendo omuli ssigala ekika kya Super Match okuva mu ggwanga erya Kenya okumuyingiza mu Uganda. Abakwattiddwa basaangiddwa ne mmotoka 2 ekika kya Toyota premio okuli UBD 499C ne UBB 151X nga zonna za Francis Yeko Were era zakwatibwa nga […]
Bya Zainab Ali
Ekitongole ekisolooza emisolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kikutte abantu abakukusa amagendo omuli ssigala ekika kya Super Match okuva mu ggwanga erya Kenya okumuyingiza mu Uganda.

Abakwattiddwa basaangiddwa ne mmotoka 2 ekika kya Toyota premio okuli UBD 499C ne UBB 151X nga zonna za Francis Yeko Were era zakwatibwa nga 8th ne 9th April 2018 ku Kalerwe nga boolekera e Kisasi.

Emmotoka emu, yasangibwamu paketi za ssigala 796 ate endala 2,832.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekya URA, Vincent Seruma, okukusa ssigala kweyongedde mu Uganda naddala Super Match okuva mu ggwanga erya Kenya kuba abasuubuzi tebagala kuwa musolo.

Serama bw’abadde eyogerako eri bannamawulire e Nakawa enkya ya leero agambye nti Gavumenti efiriddwa obuwuumbi obusuuka mu bubiri (2) eri abantu abayingiza mu Uganda ssigala nga tebawa musolo.
Mungeri y’emu agambye nti ssigala agenda kwokebwa, emmotoka zonna zitundibwe ku nnyondo ate abakwattiddwa batwalibwe mu kkooti.

Okukusa ssigala kweyongedde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuli Malaba, Oraba, Jinja, Iganga, Kampala, Fort Portal Busia, Mbale ne Busitema era bangi bakwattiddwa.
