Gavumenti erambuludde ku misolo emiggya, egigenda okuleetebwa mu mwaka, gw’ebyensi okuggya ogwa 2018 – 2019. Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’Ebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga David Bahati, emisolo emiggya, gigendereddwamu Gavumenti okulakulanya eggwanga lino omuli okuzimba amalwaliro, enguudo, amassomero, okumaliriza eddimu ly’okutekateeka amafuta agasimibwa n’ensonga endala. Emisolo emiggya, minisita gy’alangiridde kuliko Social media nga mulimu Face Book, WhatsApp, […]
Gavumenti erambuludde ku misolo emiggya, egigenda okuleetebwa mu mwaka, gw’ebyensi okuggya ogwa 2018 – 2019.
Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’Ebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga David Bahati, emisolo emiggya, gigendereddwamu Gavumenti okulakulanya eggwanga lino omuli okuzimba amalwaliro, enguudo, amassomero, okumaliriza eddimu ly’okutekateeka amafuta agasimibwa n’ensonga endala.

Emisolo emiggya, minisita gy’alangiridde kuliko Social media nga mulimu Face Book, WhatsApp, Instagram n’emikutu emirala nga buli lunnaku layini y’essimu yakugibwako shs 100.

Ate abayingiza emmotoka enkadde, Minisita alangiridde nti ziwereddwa okutakiriza obutonde bw’ensi n’okuwa amannyi abakola emmotoka mu ggwanga lino.

Ate abeyambisa amassimu okusindiika ssente “Mobile Money” Minisita Bahati alangiridde nti kuteekeddwako omusolo gwa shs 1 ku buli 100 ku ssente z’ogenda okusindika.
Minisita bino okubyogera, abadde ku Media Center mu Kampala enkya ya leero era akoowodde abantu bonna okuwagira Gavumenti, nga bayita mu kuwa emisolo.