Poliisi mu disitulikiti y’e Bushenyi ekutte abantu 10 mu kikwekweeto ekikoleddwa okufukuuza ababbi abatigomya ekitundu kyabwe. Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde emmundu ekika kya AK47 era kiteeberezebwa nti abakwattiddwa babadde bagyeyambisa okutigomya abatuuze b’e Mitooma, Bushenyi, Sheema, Buhweju ne Rubirizi. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bushenyi, Martial Tumusiime abakwattiddwa bagiddwa mu katawuni k’e […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Bushenyi ekutte abantu 10 mu kikwekweeto ekikoleddwa okufukuuza ababbi abatigomya ekitundu kyabwe.
Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde emmundu ekika kya AK47 era kiteeberezebwa nti abakwattiddwa babadde bagyeyambisa okutigomya abatuuze b’e Mitooma, Bushenyi, Sheema, Buhweju ne Rubirizi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Bushenyi, Martial Tumusiime abakwattiddwa bagiddwa mu katawuni k’e Ishaka mu town council y’e Kizinda.
Mungeri y’emu agambye nti emmundu, kiteberezebwa nti yabibwa ku musirikale eyali omukuumi mu kifo ekimu mu katawuni k’e Ishaka eyattibwa gye buvuddeko.
Tumusiime era agaanye okwatukiriza amannya g’abantu abakwattiddwa kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe.