MULINGIRIZA! Palamenti evuddeyo ku bassomesa abasinda omukwano n’abayizi, akakiiko kalangiriddwa

©GALAXY

Palamenti ekiriziganyiza okuteekawo akakiiko akenjawulo okunoonyereza ku bigambibwa nti abassomesa basukkiridde okugaanza abayizi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Ekiteeso kyaleteddwa omubaka akikirira abavubuka Anna Adeke Ebaju mu Palamenti eyabadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga ne kiwagirwa ababaka abenjawulo omuli omubaka omukyala ow’e Kaberamaido Veronica Eragu ne Anthony Okello ow’e Kioga. Adeke agamba nti abassomesa ku mitendera […]


Palamenti ekiriziganyiza okuteekawo akakiiko akenjawulo okunoonyereza ku bigambibwa nti abassomesa basukkiridde okugaanza abayizi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Anna Adeke Ebaju
Anna Adeke Ebaju

Ekiteeso kyaleteddwa omubaka akikirira abavubuka Anna Adeke Ebaju mu Palamenti eyabadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga ne kiwagirwa ababaka abenjawulo omuli omubaka omukyala ow’e Kaberamaido Veronica Eragu ne Anthony Okello ow’e Kioga.

Adeke agamba nti abassomesa ku mitendera egyenjawulo okuvira ddala mu Primary okutukira ddala ku matendekero agawaggulu, begumbulidde okugaanza abayizi, ekittattana ebyenjigiriza.

Omuyizi ali lubuto
Omuyizi ali lubuto

Mungeri y’emu agambye nti abayizi bangi nnyo ate ku myaka emito abalina abaana mu bakulu bamassomero n’abasomesa, ekintu kye balina okunoonyereza.

Ku nsonga eyo, omubaka w’e Kasilo, Elijah Okupa naye yawagidde okuteekawo akakiiko, okubonereza abassomesa bonna, abegumbulidde okugaanza abayizi era sipiika yasuubiza okukola ku nsonga eyo, mu lutuula lwa Palamenti oluddako.

Adeke ageenze okuvaayo nga Ali Muggaga akulira abassomesa ku Kibuli Secondary School bamunonyerezaako ku bigambibwa nti abadde asukkiridde okugaanza abayizi.

Ate ku yunivasite y’e Makerere, waliwo abassomesa bebaalagira okudda ebbaali okubanoonyerezaako era ku nsonga y’emu kwagala bayizi.