KITALO NNYO! Abaana 3 bafiridde mu nnyumba olw’enkuba, taata ne maama batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa

©GALAXY

ENTIISA egudde ku kyalo Lukuku mu goombolola y’e Butenga mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi, abaana basatu we bafiridde mu nnyumba. Abaana okuffa kivudde ku namutikwa w’enkuba eyabaddemu kibuyaga eyafudembye olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, okusuula ennyumba y’omutuuze Kizza Bosco. Mu nnyumba mwabaddemu abawaka bonna kyoka abaana abafudde tebasobodde kusimattuka olw’ebifunfugu ebizito okubakuba. Abagenzi kuliko Kityo Martin myaka […]


ENTIISA egudde ku kyalo Lukuku mu goombolola y’e Butenga mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi, abaana basatu we bafiridde mu nnyumba.

Abaana okuffa kivudde ku namutikwa w’enkuba eyabaddemu kibuyaga eyafudembye olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, okusuula ennyumba y’omutuuze Kizza Bosco.

Mu nnyumba mwabaddemu abawaka bonna kyoka abaana abafudde tebasobodde kusimattuka olw’ebifunfugu ebizito okubakuba.

Abagenzi kuliko Kityo Martin myaka 8, Moni Banyenzaki 6 ne Tomi Kyomugisha mwaka gumu n’ekitundu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka Lameck Kigozi, abazadde b’abaana okuli taata Kizza Bosco myaka 38 ne maama Sarah Nalubega batwaliddwa mu ddwaliro e Villa Maria mu Disitulikiti y’e Kalungu nga bali mu mbeera embi.

Poliisi esobodde okuyambibwako abatuuze okuggya emirambo gy’abaana mu bifunfugu era giwereddwa eb’enganda okutekateeka okuziika.