Abakulembeze mu bitundu bye Busigu, basitukiddemu okulwanyisa abantu bonna abegumbulidde okubba amasanyalaze, ekiviriddeko abaana okweyongera okufa. Abakulembeze okuvaayo, kidiridde abaana bataano (5) okufa mu banga lya sabiti emu yokka nga bakubwa amasanyalaze. Omwana asembyeyo okutibwa, yafa sabiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano nga 13, April, 2018 ku kyalo Namunsi Central Zone A mu disitulikiti y’e Mbale […]
Abakulembeze mu bitundu bye Busigu, basitukiddemu okulwanyisa abantu bonna abegumbulidde okubba amasanyalaze, ekiviriddeko abaana okweyongera okufa.
Abakulembeze okuvaayo, kidiridde abaana bataano (5) okufa mu banga lya sabiti emu yokka nga bakubwa amasanyalaze.
Omwana asembyeyo okutibwa, yafa sabiti ewedde ku lunnaku Olwokutaano nga 13, April, 2018 ku kyalo Namunsi Central Zone A mu disitulikiti y’e Mbale ku myaka 5 nga yakubiddwa amasanyalaze agamutiddewo.
Okusinzira ku RDC w’ekitundu ekyo, James Shilaku, balina okussomesa abantu obuzibu obuli mu kubba amasanyalaze kuba y’engeri yokka eyinza okuyambako okutebenkeza ekitundu kyabwe.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon Suwed Manshur, agambye nti bagenda kulawuna ekitundu kyona okufukuuza abantu bonna abegumbulidde okubba amasanyalaze okutaasa abaana abatibwa abeyongera buli lunnaku.
