AKUNA MUCHEZO! Brig. Sabiiti akambuwalidde abaduumizi ba poliisi, ayisizza ebiragiro ebikakali

©GALAXY

Amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Brig. Sabiiti Muzeeyi alabudde abasirikale ba Poliisi bonna okukola ennyo okuddamu okulongosa ekifaananyi kya Poliisi eri abantu mu ggwanga lino. Brig Muzeeyi agamba nti mu Poliisi mulimu abasirikale abasiiga ekitongole kyabwe enziro nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri evumaganya Poliisi, ekintu kye balina okulwanyisa. Bwe yabadde asisinkanyeko abaduumira […]


Amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga lino Brig. Sabiiti Muzeeyi alabudde abasirikale ba Poliisi bonna okukola ennyo okuddamu okulongosa ekifaananyi kya Poliisi eri abantu mu ggwanga lino.

Brig Muzeeyi agamba nti mu Poliisi mulimu abasirikale abasiiga ekitongole kyabwe enziro nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri evumaganya Poliisi, ekintu kye balina okulwanyisa.

Bwe yabadde asisinkanyeko abaduumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Brig Muzeeyi agamba nti abasirikale abakwata abantu mu ngeri evumaganya Poliisi balina okukikomya kuba Poliisi yetaaga nnyo abantu babuligyo okusobola okwanguyirwa mu ntambuza y’emirimu.

Brig Muzeeyi agamba nti abantu okuddamu okwesiga Poliisi, abasirikale bonna balina okukola emirimu nga batambulira mu mateeka n’okwolesa obukugu.

Mu Uganda, Poliisi esongeddwamu nnyo olunwe okulemberamu ebitongole ebirala byona mu ggwanga lino okutyobola eddembe ly’obuntu, okulya enguzi n’ebikolobero ebirala.