Bya Zainab Ali Kkooti y’amaggye e Makindye eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku nsonga y’okuyimbula Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero. Kitatta yasaba okweyimirirwa asobole okwewozaako ku misango egimuvunanibwa ng’ava bweru wa kkomera kuba musajja alina obuvunanyizibwa ng’abantu bangi nnyo bateekeddwa okulabirira, alina […]
Bya Zainab Ali
Kkooti y’amaggye e Makindye eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku nsonga y’okuyimbula Ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta enkya ya leero.
Kitatta yasaba okweyimirirwa asobole okwewozaako ku misango egimuvunanibwa ng’ava bweru wa kkomera kuba musajja alina obuvunanyizibwa ng’abantu bangi nnyo bateekeddwa okulabirira, alina ekirwadde ate mu kkomera tasobola kufuna bujanjabi, eddembe lye erimuweebwa ssemateeka wa Uganda n’ensonga endala.

Wabula enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha, lutegezeza ssentebe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti nti singa Kitatta ayimbulwa, ayinza okutaataganya obujjulizi, omusango gwe gwanagomola ng’alina kusigala mu kkomera ku nsonga endala.

Ssentebbe Lt. Gen Gutti ayongezaayo okuwa ensala ye, okutuusa nga 7, Mayi, 2018.
Ku nsonga y’okutandiika okuwuliriza omusango, Lt. Gen Gutti ayongezaayo okutuusa 21, Mayi, 2018.
Kkooti okwongezaayo, kidiridde oludda oluwawabirwa okwemulugunya nti oludda oluwaabi lwagaana okubawa obujjulizi bwe bageenda okweyambisa mu musango gwo.

Oludda oluwawabirwa era lutegezeza kkooti nti n’omujjulizi abadde aleeteddwa enkya ya leero omujjasi Kasaija Richard, tebalina bimukwatako.
Wabula munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Shaban Sanywa agambye nti agenda kukola kyona ekisoboka okusobola okutaasa omuntu we (Kitatta).
Kitatta avunanibwa ne banne 12 okuli Sowali Ngobi, Amon Twinomujuni, Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebata, John Kayondo, Hassan Ssengooba, Sunday Ssemogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Ibrahim Ssekajja emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo n’engatto, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu y’ebyokulwanyisa n’emisango emirala.

Kitatta yakwatibwa mu Janwali ne banne aba bodaboda 2010 mu kikwekweeto eky’amaggye oluvanyuma lw’okukwata muganda we Huzairu Kiwalabye ku bigambibwa nti yalina omukono ku nfa ya Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo bya Case hospital mu Kampala era omulambo gwe gwasangibwa nga gwokeddwa ebbali w’ekkubo mu bitundu bye Kajjansi, Entebbe.
