KIGGWA LEERO! Eyali ayagala okutuusa obuzibu ku Rev. Luwalira, Kaddu ensonga ze ziggwa leero

©GALAXY

Hebert Kaddu agambibwa okubeera n’ebigendererwa eby’okulumba omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira ku lunnaku lwa paasika, olunnaku olwaleero, akomezebwawo mu kkooti ya mwanga II wali e Mengo okwekeneenya, okunoonyereza wekutuuse ku misango egyamugulwako. Kaddu yagulwako emisango esatu (3) era nasindikibwa ku alimanda e Luzira, oluvanyuma lwa poliisi okutegeeza kkooti nti abasawo bamwekebejja omutwe ne bazuula […]


Hebert Kaddu agambibwa okubeera n’ebigendererwa eby’okulumba omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira ku lunnaku lwa paasika, olunnaku olwaleero, akomezebwawo mu kkooti ya mwanga II wali e Mengo okwekeneenya, okunoonyereza wekutuuse ku misango egyamugulwako.

Kaddu yagulwako emisango esatu (3) era nasindikibwa ku alimanda e Luzira, oluvanyuma lwa poliisi okutegeeza kkooti nti abasawo bamwekebejja omutwe ne bazuula nti mulamu ddala.

Kaddu avugga mmotoka ezitaambuza abalambuzi era mutuuze w’e Makaayi Zone e Mengo mu ggombolola y’e Lubaga.

Ku misango 3 egyamugulwako mwemuli okutiisatiisa okutuusa obulabe ku mulabirizi Luwalira ne Rev Canon Beno Kityo, Ddiini wa Lutiko, okutataaganya abakkiriza abaali bakunganye okusinza n’emisango emirala

Kaddu emisango gyonna yagyegaana mu maaso g’omulamuzi Julius Mwesigye n’asaba n’okweyimirirwa asobole okwewozaako ng’ava bweru wa kkomera era olunnaku olwaleero, omulamuzi asuubirwa okuwa ensala ye ku nsonga y’okuyimbulwa.

Ssekaayi Nsobya Emmanuel Kojja wa Kaddu
Ssekaayi Nsobya Emmanuel Kojja wa Kaddu

Wabula ab’enganda za Kaddu bagamba nti mutabani waabwe aludde ng’atawanyizibwa omutwe era ng’ajjanjabirwa mu ddwaliro ky’abatawanyizibwa emitwe e Butabika.

Ab’enganda nga bakulembeddwamu Kojja wa Kaddu, Ssekaayi Nsobya Emmanuel bagamba nti Poliisi yalemwa okutwala omwana wabwe mu ddwaliro okumwekebejja era mu kiseera kino balimba nsi.