NAYE LWAKI! Omwana myaka 2 asaddaakiddwa, 2 bakwatiddwa, omusawo w’ekinnansi bamwogeza

©GALAXY

Poliisi e Mukono ekutte abantu babiri (2) ku mwana eyasaddakiddwa. Abakwattiddwa kuliko omusawo w’ekinnansi Livingstone Ssebunya ne Robert Kato nga bonna batuuze ku kyalo Zingola mu ggombolola y’e Kome mu Disitulikiti y’e Mukono. Okusinzira ku Poliisi, omusawo w’ekinnansi Ssebunya okwatibwa, kidiridde okusanga omulambo gw’omwana omuwala eyasaddakiddwa myaka ebiri (2) okumpi ne ssabo lye ku lunnaku […]


Poliisi e Mukono ekutte abantu babiri (2) ku mwana eyasaddakiddwa.

Abakwattiddwa kuliko omusawo w’ekinnansi Livingstone Ssebunya ne Robert Kato nga bonna batuuze ku kyalo Zingola mu ggombolola y’e Kome mu Disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira ku Poliisi, omusawo w’ekinnansi Ssebunya okwatibwa, kidiridde okusanga omulambo gw’omwana omuwala eyasaddakiddwa myaka ebiri (2) okumpi ne ssabo lye ku lunnaku olwa Ssande.

Mungeri y’emu Poliisi nti Ssebunya, abadde yakawukana n’omukyala, maama w’omwana eyatiddwa, namusuubiza okumutusaako obulabe oluvanyuma omwana yasaddakiddwa.

Poliisi egamba nti omusawo w’ekinnansi amangu ddala ng’akwatiddwa, yakiriza okutta omwana olw’omukyala okunoba ate nga abadde mulungi nnyo ku nsonga z’omukisenge.

Mu kiseera kino abakwate bali ku Poliisi y’e Mukono era okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.