NZE TAATA! Walukagga apondoose nakiriza omwana w’omutwe omunene, amuwedde erinnya

©GALAXY

Omuyimbi wa Kadongokamu Sir Mathias Walukagga apondoose era akiriza naawa omwana erinnya ekiraga nti omwana wa yaaya Aisha Namugerwa eyali omukozi mu maka ga Walukagga agasangibwa ku kyalo Maya ku lw’e Masaka yamuzaala. Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi yali yavaayo okuyingira mu nsonga ezo era abadde alemeddeko okutwala omuyimbi Walukagga n’omwana ku […]


Omuyimbi wa Kadongokamu Sir Mathias Walukagga apondoose era akiriza naawa omwana erinnya ekiraga nti omwana wa yaaya Aisha Namugerwa eyali omukozi mu maka ga Walukagga agasangibwa ku kyalo Maya ku lw’e Masaka yamuzaala.

Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi yali yavaayo okuyingira mu nsonga ezo era abadde alemeddeko okutwala omuyimbi Walukagga n’omwana ku musaayi kyoka mu kiseera kino, Walukagga abiyimiriza.

Walukagga omwana amuwadde erinnya lya “Kabazzi ery’omukulu w’ekika ky’Akasimba” okusinga okugenda ku musaayi.

Okusinzira ku bantu abakulu mu ggwanga lino, omwana okuweebwa erinnya, kabonero akalaga nti Walukagga yakiriza nti omwana we.

Wabula omuyimbi Walukagga agamba nti ekimukozesezza ekyo, amaze kukizuula nti waliwo olukwe olupangiddwa abantu abenjawulo nga ne bwe banaamukebera endagabutonde era ebbaasa egenda kuvaayo ng’eriko mannya ge (Mathias Walukagga) nti ye kitaawe w’omwana.