Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayongedde obudde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akawebwa eddimu ly’okubuuliriza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga lino. Agava mu nkuubo galaga, sabiti eno ku lunnaku olwokubiri nga 24, April, 2018, omulamuzi Bamugemereire era ssentebbe w’akakiiko, yasisinkanako Mukulu Museveni mu maka ge Ntebbe […]
Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayongedde obudde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akawebwa eddimu ly’okubuuliriza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga lino.
Agava mu nkuubo galaga, sabiti eno ku lunnaku olwokubiri nga 24, April, 2018, omulamuzi Bamugemereire era ssentebbe w’akakiiko, yasisinkanako Mukulu Museveni mu maka ge Ntebbe era ensonga mpitirivu ddala zebasobola okutesaako ku nsonga z’ettaka.
Akakiiko bakongedde emyezi 6 okukomekereza emirimu gyako era minisita w’ebyensimbi alagiddwa okuwa akakiiko 7.8 Biriyoni okukola emirimu.
Akakiiko kaliko abantu 7 era kassibwawo mu 2016 okunoonyereza ku muze, gw’okugobaganya abantu ku ttaka okwali kuyitiridde mu ggwanga lino Uganda.
Mu kiseera kino, bakafuna okwemulugunya kw’abantu okuli mu 6,000.
