Gavumenti erabudde bannayuganda okwerinda enkuba eyongedde okufukumuka nga gye bagoba mu ggulu. Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde mu offiisi wa ssabaminisita wa Uganda, bannayuganda bonna balabuddwa okomya okuyita mu mazzi wadde bali mu motooka oba Bodaboda kuba gayinza okubatwala. Ekiwandiiko kitekeddwako omukono, ssabawandiisi ow’enkalakalira mu offiisi ya ssabaminisita, Martin Owor era alabudde abantu okulinda amazzi okutambula […]
Gavumenti erabudde bannayuganda okwerinda enkuba eyongedde okufukumuka nga gye bagoba mu ggulu.
Okusinzira ku kiwandiiko ekivudde mu offiisi wa ssabaminisita wa Uganda, bannayuganda bonna balabuddwa okomya okuyita mu mazzi wadde bali mu motooka oba Bodaboda kuba gayinza okubatwala.

Ekiwandiiko kitekeddwako omukono, ssabawandiisi ow’enkalakalira mu offiisi ya ssabaminisita, Martin Owor era alabudde abantu okulinda amazzi okutambula okusinga okwagala okugatambulira olwa wasiwasi kuba kiyinza okuvirako abamu okufirwa obulamu bwabwe.
