Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni agambye nti Uganda akoze nnyo okulongosa embeera, abakozi gye balina okutambulizaamu emirimu gyabwe. Pulezidenti Museveni agamba nti, ebyokwerinda okusigala nga binywevu, abakozi basobola bulungi nnyo okutambuza emirimu gyabwe nga tewali ddukaduka. Mukulu Museveni bw’abadde ayogerako eri namungi w’omuntu ng’abakozi bakuza olunnaku […]
Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni agambye nti Uganda akoze nnyo okulongosa embeera, abakozi gye balina okutambulizaamu emirimu gyabwe.
Pulezidenti Museveni agamba nti, ebyokwerinda okusigala nga binywevu, abakozi basobola bulungi nnyo okutambuza emirimu gyabwe nga tewali ddukaduka.
Mukulu Museveni bw’abadde ayogerako eri namungi w’omuntu ng’abakozi bakuza olunnaku lwabwe olukuzibwa buli 1, Mayi, 2018 mu Disitulikiti y’e Sembabule, anokoddeyo amawanga egenjawulo omuli Somalia nti abakozi balemeddwa okukola emirimu gyabwe olwa ddukaduka ali mu ggwanga eryo.
Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti egenda kukola kyona ekisoboka okutereza embeera z’abakozi bonna omuli okukola ku misaala gyabwe.
Ku nsonga y’okutumbula ebyenfuna mu maka, Museveni akubiriza abantu bonna okujjumbira okulima n’okulunda omuli enkoko, embizzi kuba kigenda kuyamba nnyo abantu okuvaayo okulwanyisa obwavu.
Omukolo gwetabiddwako abakungu bangi ddala omuli Edward Kiwanuka Ssekandi, Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda, Baminisita, Ababaka ba Palamenti, abakulu mu bitongole ebyenjawulo era olunnaku olwaleero lutambulidde ku mulamwa “Okujjukiza abakozi obuvunanyizibwa bwabwe, okusobola okulakulanya eggwanga.
