AUDIO! Poliisi ekutte omukyala ku by’okutta mukyala munne, ezudde ebitiisa

©GALAXY

Poliisi y’e Kabale ekutte omukyala ku by’okutta mukyala munne. Restatuta Mbabazi myaka 45 omutuuze w’e Nyamabare Cell mu ggombolola y’e Kabale era mu disitulikiti y’emu (Kabale), yakwatiddwa ku byekuusa ku by’okutta omukyala Kansala Ellen Tusiime myaka 40. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Kansala Tusiime yaliko mu bbaala Akampurira Bar […]


Poliisi y’e Kabale ekutte omukyala ku by’okutta mukyala munne.

Restatuta Mbabazi myaka 45 omutuuze w’e Nyamabare Cell mu ggombolola y’e Kabale era mu disitulikiti y’emu (Kabale), yakwatiddwa ku byekuusa ku by’okutta omukyala Kansala Ellen Tusiime myaka 40.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Kansala Tusiime yaliko mu bbaala Akampurira Bar e Omwibare Cell nga 22, April, 2018, kyoka enkeera nga 23, April, 2018, omulambo gwe gwasangibwa ebbali w’ekkubo okumpi n’amaka ge.

Mungeri y’emu Maate agambye nti Mbabazi okwatibwa, kidiridde okufuna amawulire nti baludde nga balina obutakaanya n’omugeenzi Tusiime.

Maate agamba nti Poliisi egeenda kunoonyereza era abantu bonna abalina akakwate ku ttemu eryakolebwa bageenda ku kwatibwa.