EBY’AKABOOZI BIWEDDEWO! Abasirikale 2 basibiddwa emyaka 18 lwa kutta muntu

©GALAXY

Abasirikale babiri (2), basindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 18 lwa bulagajjavu ne balemererwa okukuuma omusibe Paul Opolot eyali akwatiddwa ku misango gy’okabasanya ku mwana omuto. Okusinzira ku mulamuzi wa kkooti e Soroti, David Batema, abasirikale okuli James Ajotu ne Emmanuel Enyutu, nga 12, Janwali, 2014, balemererwa okukuuma omusibe era kirabika bali mulukwe, omusibe Opolot okumuttira […]


Abasirikale babiri (2), basindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 18 lwa bulagajjavu ne balemererwa okukuuma omusibe Paul Opolot eyali akwatiddwa ku misango gy’okabasanya ku mwana omuto.

Okusinzira ku mulamuzi wa kkooti e Soroti, David Batema, abasirikale okuli James Ajotu ne Emmanuel Enyutu, nga 12, Janwali, 2014, balemererwa okukuuma omusibe era kirabika bali mulukwe, omusibe Opolot okumuttira mu kaduukulu k’e Kyere police cell.

Omulamuzi abasindise mu kkomera bakulunguleyo emyaka 18 kyoka abasaliddeko emyaka 4 gye bakulungudde ku Limanda okuva 2014 era basigaza 14 buli omu.

Ate bannabwe, 4 babasingisiza omusango gw’okulemberamu okutugga Opolot nattibwa omuli akulembera okuketta abamenyi b’amateeka mu kitundu ekyo (GISO) David Ekellu, Moses Okwi, Christine Betty ne James Okodi basibiddwa emyaka 14 kyoka nabbo bagiddwako emyaka 4 gye bakulungudde ku limanda era basigaza emyaka 10 buli omu.

Ekifaananyi kya Daily Monitor