NAYE LWAKI! 2 bakwatiddwa ku by’okwokya House Maid ebitundu by’ekyama n’okumutulugunya

©GALAXY

Poliisi e Bweyogerere mu ggombolola y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu babiri (2) ku by’okutulugunya omukozi w’awaka (House Maid). Okunoonyereza kulaga nti omukozi yafuna omulimu oluvanyuma lwa kkampuni enoonyeza abantu emirimu eya Master Maids Uganda Limited okulanga ku mikutu egyenjawulo. Kigambibwa nannyini Kkampuni Peter Kayiduwa myaka 50 yasayininga omuwala gwe batulugunyiza, namusindiika okukola […]


Poliisi e Bweyogerere mu ggombolola y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu babiri (2) ku by’okutulugunya omukozi w’awaka (House Maid).

Okunoonyereza kulaga nti omukozi yafuna omulimu oluvanyuma lwa kkampuni enoonyeza abantu emirimu eya Master Maids Uganda Limited okulanga ku mikutu egyenjawulo.

Kigambibwa nannyini Kkampuni Peter Kayiduwa myaka 50 yasayininga omuwala gwe batulugunyiza, namusindiika okukola ng’omukozi w’awaka eri Sandra Mukibi omutuuze w’e Kireka.

Wabula omuwala, yasobodde okuduukira ku Poliisi y’e Bweyogerere ng’ali mu maziga, yenna ajjudde enkovu era yasobodde okuteeza Poliisi nti abadde akubwa buli lunnaku nga beyambisa waaya y’amasanyalaze, okumusibira mu nnyumba, okumwokya engalo, ebitundu by’ekyama n’okulemwa okumusasula omusaala gwe.

Mungeri y’emu omuwala agamba nti, obutakaanya wakati w’omwami n’omukyala mu maka y’emu ku nsonga lwaki omukyala yadda ku ye okutulugunya.

Abakwatiddwa mu kiseera kino bali mu kaduukulu ka Poliisi e Bweyogerere era omusango gwabwe guli fayiro namba SD REF 13/01/05/2018 ng’okunoonyereza wekugenda mu maaso.

Ekifaananyi kya Daily Monitor