AMAZIGA! Poliisi ezudde emirambo 3, abatuuze boggedde ebitakwatagana

©GALAXY

Poliisi mu disitulikiti y’e Moyo ne Adjumani ng’ekulembeddwamu balubbira, bazudde emirambo gy’abantu 3 abaggwa mu River Nile ku lunnaku lwa Ssande. Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Moyo, Stephen Agaba emirambo gyona basobodde okugizuula era asembyeyo okuzulibwa ye Ochieno Isaac okuva e Namayingo ng’abadde avudde maato ku mwaalo gwe Obongi. Emirambo gy’abalala kuliko Charles Ambayo […]


Poliisi mu disitulikiti y’e Moyo ne Adjumani ng’ekulembeddwamu balubbira, bazudde emirambo gy’abantu 3 abaggwa mu River Nile ku lunnaku lwa Ssande.

Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Moyo, Stephen Agaba emirambo gyona basobodde okugizuula era asembyeyo okuzulibwa ye Ochieno Isaac okuva e Namayingo ng’abadde avudde maato ku mwaalo gwe Obongi.

Emirambo gy’abalala kuliko Charles Ambayo myaka 22 ne Michael Drici myaka 24 nga bonna batuuze mu disitulikiti y’e Adjumani.

DPC Agaba agamba nti, ekyavuddeko akabenje tekinaba kuzuulibwa kyoka bbo abatuuze balumiriza nti okutikka akabindo y’emu ku nsonga lwaki obubenje bweyongedde ku River Nile.

Wadde emirambo giwereddwa ab’enganda z’abagenzi okutekateeka okuziika, ssentebbe wa LC ey’okusatu mu ggombolola y’e Gimara  mu disitulikiti y’e Moyo, Sam Longa alabudde abatuuze n’okusingira ddala abavubi okomya okutambulira ku mazzi obudde obw’ekiro.

Ekifaananyi kya Daily Monitor