Poliisi y’e Kireka ekutte abantu 3 ku by’okubira mu takisi. Abakwatiddwa kuliko Semeo Sebulibe, Emmanuel Kabanda ne Yunus Oryema ku by’okubba Brian Mukisa omutuuze we Kireke. Okusinzira ku Poliisi, Mukisa ku Ssande yalinya takisi namba UBB 408U ng’ageenda okusaba ku yunivaasite y’e Kyambogo kyoka webatuuka mu kkubo, bamusaba okunyweza oluggi, Kondakita nakwata mu nsawo ya […]
Poliisi y’e Kireka ekutte abantu 3 ku by’okubira mu takisi.
Abakwatiddwa kuliko Semeo Sebulibe, Emmanuel Kabanda ne Yunus Oryema ku by’okubba Brian Mukisa omutuuze we Kireke.
Okusinzira ku Poliisi, Mukisa ku Ssande yalinya takisi namba UBB 408U ng’ageenda okusaba ku yunivaasite y’e Kyambogo kyoka webatuuka mu kkubo, bamusaba okunyweza oluggi, Kondakita nakwata mu nsawo ya Laptop ne bagyamu ssente zonna.
Mukisa agamba nti amangu ddala ng’abiddwa, webatuuka e Banda, bamutegeza nti tebayinza kweyongerayo kyoka ne bamwetondera era ne bamusonyiwa ensimbi zalina okusasula.
Agamba, Takisi bweyasimbula agenda okukwata mu nsawo nga ssente zonna zibiddwa.
Amangu ddala, yasobola okweyambisa bodaboda okuwondera takisi gy’egeenze era yasobola okweyambisa essimu ye okukuba takisi ebifaananyi n’okusingira ddala namba yaayo.
Mukisa yaduukira ku Poliisi y’e Kireka, era baali mu kikolwa ekyo, bakwatiddwa ku misango gy’obubbi.
