AMAZIGA! Abadde atigomya Kampala okubba emmotoka akwattiddwa, ayogedde ebyama byona

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde akulembeddemu okubba emmotoka n’okumenya amayumba mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Twaha Mondo atemera mu gy’obukulu 20 akwattiddwa oluvanyuma lw’okubba emmotoka e Kabusu mu ggombolola y’e Rubaga, abatuuze ne batemya ku Poliisi, eyasitukiddemu era nakwatibwa. Okusinzira ku kiwandiiko kya Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Mondo abadde eyigibwa Poliisi emyaka egiwera era […]


Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde akulembeddemu okubba emmotoka n’okumenya amayumba mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Twaha Mondo atemera mu gy’obukulu 20 akwattiddwa oluvanyuma lw’okubba emmotoka e Kabusu mu ggombolola y’e Rubaga, abatuuze ne batemya ku Poliisi, eyasitukiddemu era nakwatibwa.

Okusinzira ku kiwandiiko kya Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Mondo abadde eyigibwa Poliisi emyaka egiwera era mu kiseera kino ali mu kaduukulu ka Poliisi mu CPS mu Kampala.

Poliisi egamba nti Mondo, abadde atambula n’engoye eziwera okubuzabuza abantu n’okusingira ddala abayinza okumulondola.

Mondo asobodde okutegeeza Poliisi nti okubba akuliddemu emyaka egiwera era yakabba emmotoka ezikunukiriza 40 nga yeyambisa ebisumuluzo bya Master Key.

Mu kiseera kino aguddwako omusango gw’omubbi era Poliisi etandiise okunoonyereza.