Poliisi y’e Rukungiri etandikiddewo okunoonyereza ku ngeri omuvubuka myaka 23, gyeyattiddwamu tennamanyika wabula yasangiddwa n’ebiwundu. Bernard Barugahare abadde omutuuze ku kyalo Rukiri Cell mu ggombolola y’e Kyamakanda mu disitulikiti y’e Rukungiri, yattiddwa era omulambo gwe gwasangiddwa abatuuze mu kitoogo nga gujjudde ebikuyiro e Rwamuhima Cell mu ggombolola y’e Kyamakanda. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu […]
Poliisi y’e Rukungiri etandikiddewo okunoonyereza ku ngeri omuvubuka myaka 23, gyeyattiddwamu tennamanyika wabula yasangiddwa n’ebiwundu.
Bernard Barugahare abadde omutuuze ku kyalo Rukiri Cell mu ggombolola y’e Kyamakanda mu disitulikiti y’e Rukungiri, yattiddwa era omulambo gwe gwasangiddwa abatuuze mu kitoogo nga gujjudde ebikuyiro e Rwamuhima Cell mu ggombolola y’e Kyamakanda.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omulambo guwereddwa ab’oluganda okutekateeka okuziika oluvanyuma lw’abasawo mu ddwaliro lya Rwakabengo okufulumya alipoota ku kyaviriddeko Barugahare okuffa.
Maate agamba nti Poliisi atandiise okunoonyereza okukwata abantu bonna abenyigidde mu kutta Rwakabengo.
