ANTI UGANDA! Omusuubuzi omukukuutivu attiddwa mu busungu, abatemu bamutemyetemye

©GALAXY

Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mutuuze w’e Kyaliwajjala mu monisipalite y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, omusuubuzi Saaka Kafeero myaka 42 ne bamutematema, nattibwa mu bukambwe. Okusinzira ku b’oluganda lw’omugenzi, Kafeera yattiddwa bwe yabadde egeenda mu Bbanka okutereka ssente era kigambibwa abatemu baabadde bakugu nnyo. Omulambo gwazuliddwa abasirikale okuva ku Poliisi y’e Nalya […]


Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mutuuze w’e Kyaliwajjala mu monisipalite y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, omusuubuzi Saaka Kafeero myaka 42 ne bamutematema, nattibwa mu bukambwe.

Okusinzira ku b’oluganda lw’omugenzi, Kafeera yattiddwa bwe yabadde egeenda mu Bbanka okutereka ssente era kigambibwa abatemu baabadde bakugu nnyo.

Omulambo gwazuliddwa abasirikale okuva ku Poliisi y’e Nalya ku luggudo lwe Kisosonkole e Kiira oluvunyuma lw’abatuuze okubatemyako.

Kigambibwa omugenzi Kafeero, yatemeddwatemeddwa obutundutundu era omulambo gwe, gwatwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owesigyire agambye nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza abakoze ekikolwa ekyo bakwatibwe era bafunye okutegezebwa okuva mu batuuze nti abakoze ettemu eryo ne basuula omulambo ebbali w’ekkubo, babadde mu mmotoka.