KIBI NNYO! Weasel ayunguse amaziga ku siteegi nagwamu amaannyi, akabiza abadigize amaziga

©GALAXY

Omuyimbi Weasel Manizo akabidde ku siteegi bw’ajjukidde eyali mukwano gwe nnyo mu kisaawe ky’okuyimba omugenzi Mowzey Radio eyafa nga 1, Febwali, 2018 ku Case Medical Centre, Kampala. Weasel yabadde mu Kampala ku Labonita mu kivvulu kya bannakatemba aba Ebonies era y’omu ku bayimbi abayitiddwa okusanyusa abantu. Ku Labonita, yabadde awerekeddwako mukama we era ssenkulu wa […]


Omuyimbi Weasel Manizo akabidde ku siteegi bw’ajjukidde eyali mukwano gwe nnyo mu kisaawe ky’okuyimba omugenzi Mowzey Radio eyafa nga 1, Febwali, 2018 ku Case Medical Centre, Kampala.

Weasel yabadde mu Kampala ku Labonita mu kivvulu kya bannakatemba aba Ebonies era y’omu ku bayimbi abayitiddwa okusanyusa abantu.

Ku Labonita, yabadde awerekeddwako mukama we era ssenkulu wa Bryan White Foundation omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White.

Wabula Weasel yalinye ku siteegi okusanyusa abadigize kyoka bwe yabadde eyimba oluyimba “Tukikole neera”, yajjukidde omugenzi Radio natulika n’akaaba.

Bukya Radio ava mu bulamu bw’ensi eno, Weasel ayongedde okusereba mu kuyimba era Omugagga Bryan White yamusembeza dda ku “Podium” okumuyamba ku ssente n’okutambuza emirimu gye.