Mwana muwala Zari Hassan ayongedde okulaga nti tayinza kwerabira eyali bba, omugenzi Ivan Ssemwanga kuba yagenda okufa nga balina abaana basatu (3). Ssemwanga yagenda okufa nga May 25, 2017 mu ddwaliro lya Steve Biko Academic Hospital mu kibuga Pretoria mu ggwanga erya South Africa, nga Zari ali mu mukwano n’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga […]
Mwana muwala Zari Hassan ayongedde okulaga nti tayinza kwerabira eyali bba, omugenzi Ivan Ssemwanga kuba yagenda okufa nga balina abaana basatu (3).

Ssemwanga yagenda okufa nga May 25, 2017 mu ddwaliro lya Steve Biko Academic Hospital mu kibuga Pretoria mu ggwanga erya South Africa, nga Zari ali mu mukwano n’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania kyoka wadde bafunyemu obutakanya ne bawukana, Zari ne Platnumz babadde balina abaana babiri (2).

Wabula Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti tayinza kwerabira eyali bba Ssemwanga kuba balina omukwano mungi nnyo.

Zari agamba nti bukya Ssemwanga ava mu bulamu bw’ensi eno, omwaka gugenda kuwera era tayinza kwerabira kumusabira kuba omusajja yalina omukwano.
Mungeri y’emu ajjukidde nnyina Sultan Hassan, eyafa omwaka oguwedde ogwa 2017 mu Julayi era ayongedde okusaba Omutonzi okubawa ekiwumulo eky’emirembe, “Can’t believe its almost a year since God called you, it seems like yesterday. No day passes that i don’t pray for you and mom. May your souls continue resting in peace.
We surely come from far. Here Don is seen carrying Pinto ( who is a giant now), started from the botton right? Your missed”.
