Reverend omugundivu mu bitundu bye Soroti ng’emirimu gye agitambuliza mu Soroti Anglican Diocese agobeddwa lwa kubulankanya ensimbi obukadde 8. Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono Bishop George William Erwau nga 2, Mayi, 2018, Rev Beseri Otekat, 45 alagiddwa okwabulira diocese mu bwangu ddala okutuusa nga bakomekereza okunoonyereza ku by’okubulankanya ssente z’omuzungu Rundi Randi okuva mu ggwanga […]
Reverend omugundivu mu bitundu bye Soroti ng’emirimu gye agitambuliza mu Soroti Anglican Diocese agobeddwa lwa kubulankanya ensimbi obukadde 8.
Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono Bishop George William Erwau nga 2, Mayi, 2018, Rev Beseri Otekat, 45 alagiddwa okwabulira diocese mu bwangu ddala okutuusa nga bakomekereza okunoonyereza ku by’okubulankanya ssente z’omuzungu Rundi Randi okuva mu ggwanga erya Norway.
Randi abadde akulembeddemu okuduukirira abavubuka mu Diocese y’e Soroti basobole okukyusa embeera zabwe n’okusingira ddala okwetandikirawo emirimu kyoka kigambibwa nti Rev Otekat abadde atwala ssente zabwe nazikozesa ebibye.
