Eby’okuyimbula omukozi ku yunivaasite y’e Makerere Edward Kisuze bisalwawo enkya ya leero mu kkooti ya Buganda Road wansi w’omulamuzi James Ereemye. Kisuze yakwatibwa nga kivudde ku muwala Rachel Njoroge Njeri okweyambisa omukutu ogwa Social Medial n’okusingira ddala Face Book, okufulumya ebifaananyi nga Kisuze afunvubidde okunywegera ebitundu by’ekyama ng’asinzira mu offisi ye ku yunivaasite y’e Makerere. […]
Eby’okuyimbula omukozi ku yunivaasite y’e Makerere Edward Kisuze bisalwawo enkya ya leero mu kkooti ya Buganda Road wansi w’omulamuzi James Ereemye.
Kisuze yakwatibwa nga kivudde ku muwala Rachel Njoroge Njeri okweyambisa omukutu ogwa Social Medial n’okusingira ddala Face Book, okufulumya ebifaananyi nga Kisuze afunvubidde okunywegera ebitundu by’ekyama ng’asinzira mu offisi ye ku yunivaasite y’e Makerere.
Mu kkooti, Kisuze yagulwako emisango ebiri (2) omuli okwagala okusobya n’okutyoboola ekitiibwa kya Njoroge eyali omuyizi ku yunivaasite y’e Makerere era munnansi wa Kenya nga 13, April, 2018 mu offiisi ye, bwe yali akimyewo ebiwandiiko bye.
Wabula bwe yali asimbiddwa mu kkooti sabiti ewedde ng’akulembeddwamu munnamateeka we Kenneth Munungu, yasaba okweyimirirwa kyoka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Viola Tusigwiirwe bakiwakanya kuba kiyinza okutataaganya okunoonyereza kwabwe.
Olunnaku olw’eggulo, Kisuze yakomezeddwawo mu kkooti kyoka oludda oluwaabi, lwasabye omulamuzi okulindako okumuyimbula okutuusa nga bebuziza ku Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita ku ky’okuyimbula kwe, ekyawaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango gwo okutuusa olunnaku olwaleero ku Lwokutaano, 11, May, 2018.
Wabula munnamateeka wa Kisuze, Munungu simumativu n’oludda oluwaabi okulwisawo okuyimbula omuntu we, nga bekwasa obusongasonga.
Kisuze wadde emisango gyona okugyegaana, Gavumenti eremeddeko nti erina obujjulizi.
