Poliisi etandiise okunoonyereza ku musajja atiddwa, omulambo gwe ne baguteekera omuliro. Joel Kalungi atemera mu myaka 23, abadde omutuuze ku kyalo Lugwara mu ggombolola y’e Katembe mu disitulikiti y’e Kanungi, kati z’embuyaga ezikunta era kigambibwa nti yattiddwa abatuuze, abakoowu kuba abadde asukkiridde okubba ku kyalo kyabwe. Kalungi yakubiddwa amayinja okutuusa okufa oluvanyuma ne beyambisa essaanja […]
Poliisi etandiise okunoonyereza ku musajja atiddwa, omulambo gwe ne baguteekera omuliro.
Joel Kalungi atemera mu myaka 23, abadde omutuuze ku kyalo Lugwara mu ggombolola y’e Katembe mu disitulikiti y’e Kanungi, kati z’embuyaga ezikunta era kigambibwa nti yattiddwa abatuuze, abakoowu kuba abadde asukkiridde okubba ku kyalo kyabwe.
Kalungi yakubiddwa amayinja okutuusa okufa oluvanyuma ne beyambisa essaanja ly’ebitooke okumwokya.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, avumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo kyoka n’asuubiza Poliisi okunoonyereza, okuzuula abakikoze.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro lya Katate Health Centre okwekebejjebwa.
