BUGANDA KU NTIIKO! Olukiiko lwa Buganda lutuula leero

©GALAXY

Olukiiko lwa Buganda lutuula enkya ya leero era Katikkiro Charles Peter Mayiga mw’agenda okuweera enteekateeka nnamutaayika okulaga enteekateeka ze eri obuganda n’amawulire okuva e Mmengo. Okusinzira ku Sipiika w’olukiiko, Nelson Kawalya, lukiiko lwa byafaayo kuba Katikkiro Mayiga mw’agenda okusooka okwogerera oluvanyuma lw’okuweza emyaka 5 ku Lwomukaaga bukya akwasibwa ddamula nga 12, Mayi, 2013 okulamulirako Kabaka […]


Olukiiko lwa Buganda lutuula enkya ya leero era Katikkiro Charles Peter Mayiga mw’agenda okuweera enteekateeka nnamutaayika okulaga enteekateeka ze eri obuganda n’amawulire okuva e Mmengo.

Okusinzira ku Sipiika w’olukiiko, Nelson Kawalya, lukiiko lwa byafaayo kuba Katikkiro Mayiga mw’agenda okusooka okwogerera oluvanyuma lw’okuweza emyaka 5 ku Lwomukaaga bukya akwasibwa ddamula nga 12, Mayi, 2013 okulamulirako Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 abantu be.

Mu kiseera kino, bammemba b’olukiiko batandiise okutuuka ku Bulange e Mmengo.