Kyaddaki Gavumenti ekakasizza nti ekitta abantu ekiri mu ggwanga lino mulimu abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe. Okusinzira ku Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine ekitta bakyala ekyali Entebbe ne Wakiso, ebijjambiya e Masaka , okuwamba n’okutta abantu mu ggwanga lino, abantu bangi nnyo abakwatiddwa nga n’abasirikale abali mu kikolwa ekyo, bagaliddwa. Minisita Gen Tumwine bw’abadde eyogerako […]
Kyaddaki Gavumenti ekakasizza nti ekitta abantu ekiri mu ggwanga lino mulimu abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe.
Okusinzira ku Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine ekitta bakyala ekyali Entebbe ne Wakiso, ebijjambiya e Masaka , okuwamba n’okutta abantu mu ggwanga lino, abantu bangi nnyo abakwatiddwa nga n’abasirikale abali mu kikolwa ekyo, bagaliddwa.

Minisita Gen Tumwine bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala okutegeza eggwanga, ebituukiddwako ku nsonga y’ebyokwerinda mu myaka 2 okuva 2016, NRM lwe yaddamu okwata enkasi okulembera eggwanga lino, agambye nti balina okuddamu okwekeneenya ebitongole byona ebikuuma ddembe okugyamu abantu abakyamu abakolagana n’abatemu, okusobola okutigomya eggwanga lino Uganda.
Wabula bangi ku bannayuganda bagamba nti abasirikale okwenyigira mu kutta bantu kiraga nti embeera eyongedde okubigya era abantu bangi bakyatibwa.
