AMAZIGA! Ebipya bizuuse ku by’okuttibwa kwa Suzan Magara, 9 basindikiddwa ku mmere y’abasibe e Luzira

©GALAXY

Kkooti ya Buganda Road esindiise abantu 9 ku limanda mu kkomera e Luzira ku by'okuwamba n'okutta omukyala Suzan Magara. Abasindikiddwa ku limanda kuliko Patrick Kasaija, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita (nga Imam ku Muzikiti gwa Usafi), Hassan Kato Miiro ne Ismail Bukenya nga ye musuubuzi. Banno baguddwako emisango […]


Kkooti ya Buganda Road esindiise abantu 9 ku limanda mu kkomera e Luzira ku by'okuwamba n'okutta omukyala Suzan Magara.

Abasindikiddwa ku limanda kuliko Patrick Kasaija, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita (nga Imam ku Muzikiti gwa Usafi), Hassan Kato Miiro ne Ismail Bukenya nga ye musuubuzi.

Banno baguddwako emisango ebiri (2) omuli okuwamba n'ekigendererwa eky'okusaba ssente n'okutta omuntu.

Emisango gibasomeddwa omulamuzi Charles Yeteise era bonna tebakiriziddwa kubaako kye bogera kuba emisango egibavunanibwa gya naggomola.

Omulamuzi bonna abasindiise ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 1, June, 2018 n'okuwa oludda oluwaabi obudde, okomekereza okunoonyereza oluvanyuma basindikibwe mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gya naggomola.

Okusinzira ku oludda oluwaabi nga 7, Febwali, 2018 Magara yawambibwa okuva e Lungujja e Rubaga, nga 27, Febwali, 2018 n'amala mu buwambe wiiki ssatu era omulambo gwe gwazuulibwa nga Febwali, 27, 2018 e Kigo, okuliraana oluguudo lwa Entebbe Expressway mu Disitulikiti y'e Wakiso.