WOOWE DADDY ONZITA! Ssemaka bamukutte lubona ng’asobya ku muwala we, amuyuzizza ebitundu by’ekyama

©GALAXY

Poliisi y'e Bududa ekutte ssemaka ku by'okusobya ku mwana gweyeezalira. Titus Wekoya omutuuze we Bukigai mu disitulikiti y'e Bududa yakwattiddwa ku by'okusobya ku muwala we myaka 16, omuyizi ku Bulucheke secondary schoo mu siniya ey'okubiri (S2). Wekoya okwatibwa, kidiridde mukyala we Deborah Nekesa okuddukira ku Poliisi mu offiisi y'amaka, okuyambibwa ku taata w'abaana asukkiridde okusobya […]


Poliisi y'e Bududa ekutte ssemaka ku by'okusobya ku mwana gweyeezalira.

Titus Wekoya omutuuze we Bukigai mu disitulikiti y'e Bududa yakwattiddwa ku by'okusobya ku muwala we myaka 16, omuyizi ku Bulucheke secondary schoo mu siniya ey'okubiri (S2).

Wekoya okwatibwa, kidiridde mukyala we Deborah Nekesa okuddukira ku Poliisi mu offiisi y'amaka, okuyambibwa ku taata w'abaana asukkiridde okusobya ku mwana we.

Omwana asangiddwako enkovu oluvannyuma lw'okulwanagana ne kitaawe ku Ssande sabiti ewedde nga 13, Mayi, 2018 ng'awakanya okumusobyako.

Omwana ne ssemaka Wekoya essaawa yonna bakutwalibwa mu ddwaliro bonna okwekebejjebwa.